Skip to content Skip to footer

Abasuubuzi beegatte

museveni for agriculture

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni asabye abasubuzi okwongera okukwatagana n’okwegatta, okusobola okukola businensi enene.

Bwabadde atongoza okuzimba ekibuga ekitumiddwa Mega city e Mukono, Museveni agambye nti abasubuzi abasinga obungi bagala kukola bokka, ekikendeeza amagoba gebafuna.

Museveni agambye nti abasuubuzi bwebegatta basobola n’okwewala okwewola ensimbi mu banka ate nebakulakulana

Ekibuga kino kigenda kubeera n’amanyumba ag’omulembe 1000, ngakwotadde amalwaliro, amasomero wamu n’ebirala.

Ekibuga kino kigenda kuwementa obukadde bwa doola 100.

Leave a comment

0.0/5