Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.
Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.
Ssabapoliisi w’eggwanga lya Kenya Joseph Boinett agamba abalumbaganyi bano batuuse basasirabusasizi masasi mu lujja lw’ettendekero lino.
Boinett agamba bayitiddwa okuyamba ku poliisi okutwalaganya abatujju bano era n’asaba abantu bonna okusigala nga bakkakamu nga ebitongole ebikuuma ddembe bwebigenda mu maaso n’okulwanyisa abatemu bano.
Kenya okulumbibwa nga Uganda nayo kyejje erabulwe ku batujju ba Alshabaab abayinza okulumba.