Bya Prossy Kisakye
Abatuuze abawangalira mu Kasubi zone 4 bakyankalanyizza olukiiko lw’ekyalo olubadde luyitiddwa ssentebbe wa LC 2, okusobola okulaba nga bakubaganya ebirowoozo ku butya bwe bayinza okutebenkezamu eby’okwelinda mu kitundu kyabwe nga bagamba nti babadde balina kusooka kufuna ssentebe w’ekyalo.
Olukiiko luno lubadde luyitidwa Peter Tamale, ssentebe wa LC 2 wabula lumutabuseko abatuuze bwe bakalambidde nga bamubuuza, obuyinza gy’abujje okuyita olukiiko kuba bbo tebalina ssentebe w’akyalo nga babadde basuubira nti, ono abadde abayise ku mulonda.
Olukiiko bwerutabuse abakuuma ddembe okuva ku poliisi ye Kawaala wamu ne OC wa poliisi ye Kasubi nga kwotadde na ba LDU ne bayingirawo okusobola okuzza embeera munteeko.
Oc wa Kasubi, Gilbert Nyaika asabye abatuuze okubeera abakakamu ng’ensonga yaabwe bwenogerwa eddagala, wabula era n’abasaba okukolaganira awamu okulaba nga bakuuma eby’okwerinda mu kitundu kyabwe.