Waliwo abavubuka 12 abakwatiddwa lwakwetaba mu misinde egyawereddwa poliisi.
Bano bebamu ku begattira mu kibiina kyabwe eky’abavubuka abaavu nga babadde bategese emisinde egy’okutolontoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.
Bano bayooleddwa okuva mu bitundu bya Wandegeya ne kabalagala .
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga abavubuka bano bwebataasaba lukusa kutegeka misinde gino nga ate bazze bakunga abantu okukunganira mu bifo eby’enjawulo.
Wabula ye omukwanaganya w’abavubuka bano nga era asimattuse okukwatibwa Kazibwe Bashir ategezezza nga bwebazze basaba poliisi olukusa ku nsonga eno naye nga tebadibwamu.