Skip to content Skip to footer

Abawagizi basatu bafudde

File Photo: Mbabazi nga e Mbale
File Photo: Mbabazi nga e Mbale

Omuwagizi w’omu ku besimbyeewo ku kya Mawokota South Kiyingi Kenneth Joseph Bbosa azirikidde mu lukungaana lw’ebyobufuzi n’afa.

Afudde ategerekeseeko lya musawo jjingo owo ku kyaalo Nabyewanga.

Omusajja ono afudde atuusibwa mu ddwaliro e Mpigi nga tekinnaba kutegerekeka kiki ekivuddeko puleesa okumukuba

Ate e Kayunga, omuwagizi wa minisita Aidha Nantaba naye afudde oluvanyuma lw’okuwanuka ku kiloole gy’abadde n’afa.

 

Mu geri yeemu ate e Nansana, era omuwagizi abadde atamidde awanuse waggulu n’agwa wansi emotoka n’emulinnya okugulu nga naye ali bubi

Ono atategerekese mannya muwagizi wa Musoke Wakayima ayagala okukiikirira abali mu municipaali ye Nansana.

Kati nno e Mpigi ku kifo kya Mawokota North, okuwandiisa abantu kufundikidde ng’abantu bataano beebesimbyeewo.

Ku bano kuliko  Amelia Kyambadde owa NRM, Grace Kansiime eyawangulwa mu kamyufu kyokka ng’azze ku lulwe , David Tebusweke , Josh Kakyama ne Fred Kagiri abali ku lwaabwe.

Ate ku kya Mawokota South, abasunsuddwa kuliko John Bosco Lubyaayo, Samuel Walter Lubega Mukaaku ali ku lulwe, Kiyingi Kenneth Joseph Bbosa ne Vincent Mayana owa DP.

Ku ky’omukyala we Mpigi, abayise mu kasengejja kuliko Sarah Temulanda owa NRM,Teddy Nambooze owa DP, Everlyn KIgongo ali ku lulwe, Wanyana Lutaaya anaye bwatyo kko ne Jamirah Naluyange owa FDC.

Leave a comment

0.0/5