Bannamateeka abakiikiridde DP bawaddeyo okwemulugunya kwaabwe nga bawakanya okugana okwuandiisa akulira ekibiina kino Norbert Mao.
Mao teyawandiisiddwa kwesogga lwokaano lw’anaakiikirira aba municipaali ye Gulu lwabutaba ku lukalala lw’abalonzi.
Bannamateeka ba Mao kati bakulinda eky’okuddamu mu nnaku 7 ezoogerwaako ssemateeka.
Bbo nno bannakibiina bakyasobeddwa ku ngeri y’okukwatamu ensonga eno.
Omwogezi w’ekibiina Paul Kakande agamba nti ssibakusimbawo Muntu mulala kubanga tewali budde