Skip to content Skip to footer

Tewali yafiiridde mu Kabenje e Bukoto-Poliisi

Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Poliisi ekakasizza nti abantu 29 bebali ku bisituliro banyiga biwundu mu ddwaliro e Mulago, oluvanyuma lw’akabekabenje akaagudde ku bitaala e Bukoto.

Akabenje kano kaaguddewo omugoba wa mmotoka kika kya lukululana, okumulemerera okusiba nayingirira mmotoka endala 8, ezabadde ku bitaala awo.

Omuddumizi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala Norman Musinga, agambye nti omugoba wa lukululana eno yakwatiddwa, nga bagenda kweyambisa nnyo camera eziri okumpi okunonyererza.

Wabula Musinga agambye nti tewali muntu yenna yaafiridde mu kabenje kano, okwawukana namawlire agasoose okufuluima agalaze nti omuntu omu yeyafudde.

 

Leave a comment

0.0/5