
Uganda etandise okuggya amaggye gaayo mu ggwanga lya South Sudan.
Bino birangiriddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Ambasada James Mugume.
Kino kiddiridde endagaano eyassibwaako emikono okuzza emirembe mu ggwanga lino ng’amaggye gonna amagwiira gaali galina okwamuka eggwanga lino.
Nsalessale yali wa nga 10th October 2015.
Ambassador Mugume agambye nti musanyufu nti bayambye mu kuzza emirembe mu ggwanga nga South Sudan ebbanga lyebamazeeyo.
Yye omuduumuzi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala agambye nti amaggye agasembayo gakuva mu South Sudan nga 1st November 2015.
Bbo nno abasuubuzi mu Uganda bagamba nti eky’okujjayo abasuubuzi kyandikeeza ensimbi gavumenti z’ebadde esasanya kyokka nga bbo ng’abasuubuzi bayinza okukosebwa.