
Ab’ekibiina kya FDC bategeezezza nga bwebagenda mu kkooti ku nsonga z’abantu baabwe abakwatibwa mu ngeri evvoola eddembe lyaabwe.
Ku lw’omukaaga bannakibiina kya FDC okuli Dr Kiiza Besigye Paul Mwiri, Ssemujju Nganda ne Geoffrey Ekanya kko n’abalala bakwatibwa bwebaali bagenda e Rukungiri ku lukungaana.
Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda agambye nti aduumira poliisi gen Kale Kaihura alina okunyonyola ebikolwa bya poliisi.
Ssemujju wabula FDC yakusigala ng’egenda mu maaso n’enkiiko zaayo nga ku lw’okutaano luno bagenda Mukono Jjinja ne Tororo ate ku lw’omukaaga bagende e Busia.
Nganda era alumbye n’abo abayambudde omuwagizi baabwe.
Wabula yyo Poliisi erumirizza emikutu gy’amawulire okutataganya akatambi k’omuwagizi w’ekibiina kya FDC eyayambuddwa engoye nga akwatibwa nebaraga nga poliisi bweyakoze kino.