Amaggye g’eggwanga gawakanyizza ebigambibwa nti waliwo okuwandiisa abajaasi okufuna endagamuntu
Akulira DP Norbert Mao yategeezezza nti mu bitundu bye Gulu yabadde afunye amawulire nti aba minisitule y’omunda mu ggwanga bakyawandiisa abantu kale nga kyewunyisa nti yye bagaana okumuwandiisa
Kati Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda agamba nti nabo baagoberera nteekateeka ya buli munnayuganda eyakoma nga 11th omwezi gw’okutaano.
Anyonyodde nti balinze okulonda kuggwe babe nga bawandiisa abantu baabwe abafikkira era ng’ebyogerwa Mao byabulimba
Kyokka Ankunda agambye nti bali mu kawefube wakwogereza minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okukola ku kaadi z’abo abakyusibwa kati gyebakolera basobole okuzifunira gyebadda.
Ono era awakanyizza ebigambibwa nti waliwo n’ebifo ebipya ebirondebwaamu mu maggye.