Gavumenti etegeezezza nga bw’eri ennetegefu okuliyirira abantu abataano abafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu tiimu y‘eggwanga.
Abazannyi ba Uganda cranes basatu beebalumiziddwa mu kabenje kano akaagudde e Kamonkoli ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi baasi eyabaddemu abazannyi bweyavuddeko omupiira neyambalira taxi abantu bataano nebafa
Minisita omubeezi akola ku by’emizannyo Charles Bakabulindi agamba nti balindiridde alipoota ya poliisi okulaba engeri gyebayinza okuyambako
Ono wabula alumbye abo abanenya pulezidenti olw’akabenje kano nga bagamba nti tiimu y’eggwanga esobola okusisinkana pulezidenti yonna gy’aba ali