Bya Steven Ariong
Mu disitulikiti ye Moroto mu bitundu bye Karamoja pikipiki ezaweebwawo okusomba abalwadde ku byalo okubatwala mu malwaliro zikola nga nga bodaboda.
Nga 20th/05 2015 disitulikiti 7 ezekaramoja zaweebwa pikipiki 28 okukola nga Ambulance okutaasa ob ulamu bw’bamaama abali enyo mu byalo ga kizibu okutuuka mu malwaliro nga era bweyali abakwasa pikipiki zino, akulira ekitongole kya UNFPA ekyawaayo pikipiki zino Steven Muzinguzi yakalatira abakulira disitulikiti okukwata obulungi piki zino.
Wabula abavuga pikipiki zino baazikuulako dda emifaliso n’obutanda bw’abalwadde wamma nebevugira bodaboda ssikufa bwavu nti kubanga basoba balwadde.
Omu ku basawo ataagadde kwatikirizibwa manya atutegezezza nti obwavu bubali bubi ssente bafuna ntono kale nga lwaki tebevugira bodaboda ku pikipiki zino ezobwerere zebalina.
Wabula akulira abakozi e Moroto Gwokito Jackchan atutegezezza nga bw’abadde tamanyi kigenda mu maaso naye nga kati buli piki ekwatibwa nga erina kusomba balwadde nga ekola boda yakuboyebwa.