Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala nga buva ku ssimu asazeewo kumwokya
Abbo Isonjo enzalwa ye Congo yakkakanye ku mukyala we Easter Namutebi n’amuyiwako amafuta n’amwokya yenna lwakumusanga na bubaka bw’omukwano ku ssimu ate nga tebuva wuwe.
Bano bamaze mu bufumbo bwaabwe emyaka 4 nga amulinamu omwana omu.
Twogeddeko ne Namutebi ku ddwaliro e Mulago wabula ng’embeera ye yeeralikiriza.