Bya EPHRAIM KASOZI.
Banamateeka okuva mumawanga ga East Africa abegattira mu kibiina kyabwe ekya East Africa Law Society basabye abakulembeze b’ekitundu kino okugamba ku mukulembeze we gwanga lya Uganda Kaguta Museveni nti kano kekadde ajukire enkola ey’okuteeka ekitiibwa mu dembe ly’obuntu.
Bano balabude nti enkola egenda mu maaso ey’okuliisa abantu akakanja, nadala okukwata, kko n’okutulugunya abavuganya government egenda kuvaamu okuyiwa omusayi, kko n’okuzza egwanga emabega.
President w’ekibiina kino kino Richard Mugisa agamba nti Uganda erudde nga erwana okukuuma emirembe, era nga edembe ly’obuntu litekebwamu ekitiibwa, wabula bino byonna bitandise okusereba.