Waliwo ekibinja kya bannamateeka ekisabye poliisi okwewala okukwata abantu abatalina musango.
Bano babadde baanukula ku kukwatibwa kw’abawagizi ba Amama Mbabazi.
Omu ku bannamateeka bano Severino Twinobusingye agamba nti poliisi esaanye okusooka okwetegereza amateeka nga tennakwata bantu
Ono agamba nti abakwatiddwa tebalina musango gwebazizza era tewali nsonga lwaki abakwatiddwa
Wabula yyo poliisi egamba nti abakwatibwa baali bamenye amateeka agakwata ku kukuba kampeyini