Bya Sam Ssebuliba
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okuvumirira okutulugunya n’okuwagira abatulugunyiziddwa , amaloboozi g’okusomesa abakwasisa amateeka ne bannayuganda bonna ku by’okutulugunya gongedde okuyitamu.
Olunaku luno lukuzibwa buli nga June 26 each okujjukiza ensi nti okutulugunya kikolwa kya kko.
Akulira emirimu mu kibiina ekibudabuda ababa batulugunyiziddwa ekya African Centre for treatment and rehabilitation of Torture victims Esther Nabwire agamba oba oli awo okusomesa abantu kwandikendeeza ku batulugunyizibwa abeyongera buli lukya.