Abantu 3 baafudde n’abalala 7 bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’akabenje akaagudde ku nkulungo ye Kawaala akawungezi akayise.
Loole eyabadde ekubyeko ensawo z’amanda y’alemeredde omugoba waayo ku kasozi n’edda emabega neyevulungula enfunda olwo nesabala abaabadde okumpi.
Aduumira poliisi ye Kawempe DPC Hashim Kasinga ategezezza nga abasinze okukosebwa beebo abatundila chipusi ku luguudo n’ababadde mu buwoteeri bwokukubo.
Abaafudde bategerekese nga Twaha Nviirine Dickson Mutegere , nga omulala tanaba kutegerekeka.
Abaakoseddwa bonna baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Abooluganda 11 omubadde n’omwana omuwere ow’emyezi 6 basimattuse akabenje oluvannyuma lw’emmotoka mwebabadde batambulira ekiro ekikeesezza olwaleero okwabika omupiira neeyefuula nebawandagala, abamu n’okubeebakira wali e Nabusanke ku luguudo oluva e Masaka mu district y’e Mpigi.
Bano babadde mu motoka kika kya Ipsum No. UAN 457C, era nga babadde bava kuziika munnaabwe eyafudde ng’azaala ku kyalo Kisaabwa e Masaka.
Abadduukirize batuuse mu bwangu nebabaddusa mu ddwaliro ery’e Nkozi era nga police y’ebidduka egenze okutuukawo, nga akabenje kano wekagudde tewakyali muntu n’omu era abatuuze bagivumiridde nnyo olw’obugayaavu.