Ettendekero ekkulu olwaleero lwebayanjula Ezra Suruma ku bw’amyuka ssenkulu w’ettendekero lino .
Omwogezi wa Yunivasite ye Makerere Rita Namisango ategezezza nga Suruma bw’agenda okukakasibwa mu butongole amakya galeero ku ssaawa 5 azokumakya.
Namisango agamba nga amaze okwanjulwa, Suruma wakukulemberamu amatikira g’ettendekero ag’omulundi ogwe 66 agagendera ddala okutuusa olunaku olwokutaano.