Abatuuze be Seeta mu kibuga kye Mukono bakidde abasajja babiri nebabateekera omuliro abasubirwa nti babadde babbye pikipiki.
Aba BodaBoda okuva mu bitundu bye Kyaliwajjala bazze bagoba ababbi bano okuyita e Namugongo, Ssonde okutuuka e Bukerere gyebabakwatidde nebabakuba kko n’okubatekera omuliro
Poliisi w’etuukidde nga bano baakaze dda nga kati emirambo egitutte mu ggwanika e Mulago.
Abagenzi bategerekese nga Rogers Ssebuufu ne Jonathan Ssemanda.
Abatuuze bagambye basanyufu nti abantu bano battiddwa
Atwala okunonyereza ku buzzi bw’emisango Moses Mayanja avumiridde ekikolwa ky’abatuuze n’aba Bodaboda okutwalira amateeka mu ngalo nategeeza nti batandise okunonyereza bonna abakibaddemu bakwatibwe.