Eyali omusomi w’amawulire ku NTV Rose Nankabirwa afudde
Nankabirwa afudde aweza emyaka 35 ng’aludde ng’atawanyizibwa ekirwadde kya kokoolo.
Yaddusibwa mu ddwaliro e Nairobi ku lw’omukaaga okusobola okufuna obujjanjabi obusingako kyokka nga abasawo tebasobodde kumutaasa.
Bbo abantu ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okuweereza obubaka obukubagiza ab’enganda ze.
Ku mikutu gya Facebook ne Twitter enkumi n’enkumi zikyaweereza obubaka.
Nankabirwa y’afudde kookolo akawungeezi akayise mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi mu ggwanga lya kenya oluvanyuma lw’okuddusibwayo nga ali bubi.
Rosemary ye musomi w’amawulire eyasookera ddala ku NTV bweyaggulawo mu 2006 nga w’afiiridde abadde asoma mu ggwanga lya Bungereza nga era teyakomekerezza misomo gye.