
Agenda okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja Dr Kiiza Besigye ategezezza nga bwebatagenda kuzira kulonda kwa 2016.
Wabula Besigye ategezezza nga bwebagenda okugenda mu maaso n’okubanja ennongosereza mu mateeka g’ebyokulonda
Ekibiina kya FDC kibadde kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino ng’eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola ku nongosereza zino nga tebanagenda mu kulonda sso nga ye ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu agamba bagende mu maaso n’okulonda yadde tebanakola ku nongosereza.
Abavuganya gavumenti n’ebibiina byobwanakyewa bazze babanja enongosereza mu mateeka gano wabula palamenti yayisa enongosereza mu ssemateeka nga mpaawo nongosereza za bya kulonda zitekeddwamu.
Ezimu ku nongosereza zebagala kwekusattulula akakiiko k’ebyokulonda.