
Ab’ekibiina kya DP bamalirizza kamyufu k’omubaka omukyala owa distulikiti ye Kampala .
Eyali minisita wa ssabasajja akola ku nsonga z’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi y’agenda okukwata bendera ya DP mu mwaka 2016
Bino bituukiddwaako mu ttabamiruka w’abanna DP mu Kampala.
Nakiwala afunye obululu 41, nekuddako Stella Kiryowa Mukama afunye obululu 17 ate Shifra Lukwago y’asembye n’obululu 16.
SSentebe wa DP mu Kampala Vincent Mayanja agamba nti okulonda kubadde kwa mazima na bwenkanya era nga kati balinze kalenda ya byakulonda.