
Eyali ssabaminisita amama Mbabazi alina lwaleero lwokka okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okuvuganya mu mukago gw’abavuganya obwa the Democratic Alliance
Nsalessale yabadde wa jjo kyokka olw’okuba nti Mbabazi yabadde mu ntalo e jjinja kale obudde nebuyita
Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye basoose mu kafubo wali ku wofiisi z’omukago gw’abavuganya e Ntinda
Mbabazi yali yawaayo okwemulugunya ku nsonga ezitali zimu omuli n’obungi bwa ba minisita ne ku ky’okutondawo gavumenti y’ekiseera ssinga bawangula akalulu ka 2016.
Ab’omukago abaatudde olunaku lwajjo basazeewo nti okuwuliriza okwemulugunya kwa Mbabazi ng’amaze kwegatta ku mukago mu butongole.
Mu kusooka, loodimeeya Erias Lukwago yalumbye wofiisi z’omukago ng’ayagala kumanya lwaki baluddewo okumuddamu ku ky’okuyingiza ekisinde kye ekya Truth and Justice mu mukago.