Bya Kyeyune Moses
Palamenti, olukiiko lwe gwanga olukulu, akawungeezi ka leero balonze nebawagira okuteesa ku bbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulemeze we gwanga kugende mu maaso.
Ababaka 317 bawagidde ennongosereza zino, ku bbago eryayanjulwa okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze, 97 tebawagidde ate babiri bokka bebatalina kyebanukudde.
Ababaka 289 bebabadde betagisa ensonga eno okugenda mu maaso, ku babaka 435 balai mu palamenti eye 10.
kakti ebbago lino livudde ku mutendera gwkakiiko nga lyakutesebwako nnyingo ku nnyingo era kawayiro ku kawayiro.
Omukubiriza Rebecca Kadaga, yalangiridde ebivudde mu kalulu kakawungeezi.