
Ab’ekibiina ekyomusanvu olwaleero lwebatuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo.
Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Matthew Bukenya agamba abayizi abasoba mu 620,000 basuubirwa okutuula ebigezo bino mu bifo ebisoba mu 7,800.
Amakya galeero abayizi bakutuula ekigezo kya Social Studies n’oluzungu olwo olunaku olwenkya bakole okubala ne sayansi.
Mungeri yeemu Bukenya agamba olwokubeera abenkanya, abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe bakwongerwamu eddakiika 45 nga abalala bamaze okukola ebigezo bino.
Agamba kino bakisazeewo olw’omuwendo gw’abantu ab’ekikula kino abeyongera buli lukya nga kulunop abewandiisizza basoba mu 800 nga abasinga bamuzibe.
Mungeri yeemu poliisi erabudde bannabyabufuzi abanetaba mu kusunsula kwa pulezidenti okwewala okukuba enkungaana ezinatataganya abayizi nga bakola ebigezo byabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba baayungudde dda abaserikale abasoba mu 1000 okulondoola ebigezo bino.