Gavumenti emalirizza enteekateeka ezigendereddwaamu okunyweza eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe.
Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agambye nti gavumenti ng’eri wamu n’ekitongole ekikola ku byembuuka y’enyonyi yakuzimba ekifo ky’omulembe Entebbe nga kirimu buli kalonda akwata ku by’okwerinda .
Kaihura agambye nti bakwataganye ne gavumenti ya Kenya okulaba nti omulimu gutandika.
Ekifo kino kyakubaamu kamera, zisikaana, embwa kko n’ebitaala by’ebyokwerinda eby’omulembe.
Kaihura agamba nti kino kijja na kuyamba okukendeeza ku budde omuntu bw’amala ku kisaawe.