Omubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze asimbidde ekkuuli eky’okuzimba ebbaala okumpi n’ekitebe kye Goma.
Ono annenyezza nnyo tawuni kilaaka Innocent Ahimbisibwe okuwa bano olukusa okuzimba ebbaala ku ttaka awabadde wagenda okuzimbibwa eddwaliro nga liri mu ntekateeka.
Ebbaala eno ezimbibwa wakati mu bukuumi bw’amaggye nga nanyini yo tanamanyika.
Ekifo kino kyakusuza balambuzi abanajja kuno mu ku kyala kwa paapa.
Omubaka Nambooze atuseeko mu kifo kino, alayidde obutaganya bbaala eno kugenda mu maaso.
Wabula bino byonna tawuni kilaaka Ahimbisibwe abiwakanyizza nti ettaka lino ssi lya Goma wabula lya muntu mulala era ayagala kukola weba parking mmotoka.