Waliwo munnamateeka agobeddwa mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo, lwakugezaako kulagirira omujulizi engeri gyebaddamu ebibuuzo.
Allan Mulindwa y’agobeddwa, akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereire, oluvanyuma lw’okumulabula nga tawulira.
Mulindwa abadde agenze kuwolereza Richard Ssempagala, eyalagiddwa okukeberebwa endaga butonde.
Wabula oluvanyuma Ssempagala ategeezezza akakiiko nga bweyafuna ettaka e Nakigalala ewayitta oluguudo lwa Entebbe express Highway okuva ku maama we, kyokka nga talina biwandiiko.
Ono ategezeza nga bweyaweebwa akawumbi 1 n’obukadde 200.