Minisita wa Kampala Betty Kamya asabye bannayuganda bonna okuvaayo bawagire entujjo ya Kampala etuumiddwa Kampala city Festival.
nga atongoza enteekateeza z’entujjo eno , mukyala Kamya ategezezza nga entujjo eno bw’egenda okutunda amakula ga Kampala eri ensi yonna n’ebilungi ebirala.
Agamba nga oggyeko okufunamu ensimbi, KCCA yakugatta abantu bonna okuva ebule n’ebweya.
Entujjo y’omwaka guno yakubeerawo nga 2 October 2016