Kafulu mu kuzanya omupiira Lionel Messi alangiridde nga bw’anyuse okuzanyira eggwanga lye.
kiddiridde Argentina okukubwa Chile mu fiyinolo z’empaka za Copa Amerika.
Kati eno fayinolo yakuna mu myaka 9 nga Messi ne tiimu ye eya Argentina ekubwa ku fayinolo.
Messi ategezezza nga ebya ttiimu y’eggwanga bwebiganye yadde nga agezezzako kale nga ekisingako kubyesonyiwa asigalire kiraabu ye eya Barcelona.
Mu Barcelona, Messi awangudde ebikopo bya liigi 8 nebya Champions League 4 nga mu ttiimu y’eggwanga abalayo zaabu wa Olympics gweyawangula mu 2008.