Bya Sadat Mbogo
Omusajja omusiguze yewunyisizza ekyalo bwakkakkanye ku maka ga musajja munne n’agakumako omuliro negasaanawo ngetabwe eva ku mukazi.
Akwatiddwa obusungu obwe tumbiizi ye Peter Kambugu, owemyaka 26 eyasigula Betty Nagawa owemyaka 30 muka Joseph Matovu, 33 abatuuze ku kyalo Majja mu muluka gw’e Bongole mu ggombolola y’e Buwama e Mpigi.
Kabugu bw’amaze okwoca amaka ga musajja munne, olwo neyeetwala ku police y’e Buwama gyannyonnyoledde nti Nagawa abadde asusse obwandibalwanya.
Atwala police eno Albert Natumanya aggalidde omusajja ono n’ategeeza nti agenda kuvunaanibwa mu mbuga ez’amateeka.