Ebya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga obutasimbibwako Muntu yenna ku kifo ky’omubaka omukyala e Kamuli bigaanye.
Nga waakayita mbale nga ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba ky’ajje asembe Kadaaga okwesimbawo awatali amu amuvuganya waliwo eyesowoddeyo okumusuuza omugaati.
Eyali omukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo Deborah Mwesigwa w’owulirira bino nga y’atongozza dda kawefube w’okwesimba ku Kadaga.
Mukyala Mwesigwa ategezezza nti yadde nga assa nyo ekitiibwa mu Mukyala Kadaga, bamusaayi muto bangi abalina ebirowoozo ebizimba eggwanga nga kyekiseera okukwata mu nkasi y’okukulembera abakyala e Kamuli.