Skip to content Skip to footer

Teri kujingirira ndagamuntu

Aronda

Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima akakasizza bannayuganda nga endaga Muntu zebaafunye bwezitasobola kujingirirwa.

Gen Aronda agamba nti baakitegedeko nga bwewaliwo abantu abamu abaabadde batandise ojingirira ezaabwe ku Nasser road ne Nkrumah okusobola okufuna paasipooti wabula baabaguddemu mu bwangu.

Aronda agamba kaadi zino baaziteekako obubonero obwekusifu kale nga kizibu okuzijingirira.

Ono era azzemu okukunga bannayuganda bafune endagamuntu zino okwewala abagwiira okweyagalira mu by’obugagga byabwe naddala ku nsalo.

 

Leave a comment

0.0/5