Skip to content Skip to footer

Mukula yegaanye eby’obutesimbawo

Mukula tw

Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula asambazze ebigambibwa nti y’avudde mu lwokaano lw’okuddamu okwesimbawo mu kalulu ka 2016.

Mukula y’adda mu by’obufuzi mu 2011 oluvanyuma lw’okumegebwa munna FDC  Willy Ekemu mu 2006.

Kigambibwa nti ku leediyo emu e Teso,Mukula y’ategezezza nga bwatagenda kuvuganya ku kifo kyabyabufuzi kyonna mu kulonda okujja.

Wabula mu mboozi eyakafubo naffe, Mukula  Mukula ategezezza nga bwatanasalawo ku nsonga yonna nga wakuvaayo n’ekiwandiiko ku pulaani ze eza 2016 essaawa yonna.

Mukula y’alongosebwa gyebuvuddeko ku biteberezebwa nti y’ali aweereddwa obutwa nga era kigambibwa oluvanyuma y’ategezezza nga bw’agenda okuva ku by’obufuzi abilekere abalala.

Leave a comment

0.0/5