Enkuba eyamwaanyi ebaddemu nekibuyaga eree amaka agawerako gali ku ttaka nga n’ebirime mu nimiro nyingi byononeddwa mu gombolola ye Kamonkolo subcounty mu disitulikiti ye Budaka .
Ssentebe w’egombolola ye Kamonkoli Edinandi Piringo agamba emiruka ena okuli Kamonkoli, Nyanza, Kiraka ne Sekulo gikoseddwa sso nga ebyalo 7 abaayo bali mu maziga.
Ono atidde nti enjala ani amuwadde akatebe yandibalumba singa tebaddukirirwa.
Ye omubaka wa pulezidenti e Budaka Geoffrey Macho ategezezza nga bwebalinda alipoota okuva eri abatwala egombolola eno nga tebanekubira nduulu eri minisitule ekola ku bigwa tebiraze n’ebibamba.