Abavumirira abakyala abayambulidde ba minisita olw’enkaayana z’ettaka balabuddwa okukikomya.
Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu bitundu bya Acholi Reagan Okumu agamba abatuuze balina eddembe okwekalakaasa ku nsonga ezibaluma.
Wiiki ewedde waliwo bannamukadde abakyala abeyambudde engoye zonna nebasigala buswa mu maaso ga minisita w’ebyettaka Daudi Migereko n’owensonga zomunda w’eggwanga Aronda Nyakairima nga bawakanya eky’okulamba ensalo wakati wa disitulikiti ya Adjumani ne Amuru nga batya ettaka lyabwe okubibwa.
Okumu agamba ekikolwa kino kyabadde kyakuyaggayagga okuva eri abakyala bano era ssi kyabusawavu eri ekika ky’abacholi.
Mu lukungaana lwabannamawulire ku wiikendi, omu ku bakuli b’abacholi David Onen Acana II, y’ategezezza nga abakyala bano bwebaswazizza obuwangwa bwabwe nga abacholi nga beyambulira abantu.
