Skip to content Skip to footer

kampuni enzimbi 10 ez’ekikwangala wano mu Uganda

File Photo: Ebiturakitaebirima enguddo
File Photo: Ebiturakitaebirima enguddo

Kizuliddwa nga kampuni enzimbi 8 ku 10 bweziri ez’ekikwangala wano mu Uganda .

Kino kibikuddwa minisita w’emirimu n’ebyentambula John Byabagambi ategezezza nga amakampuni manji bwegajingirira satifiketi z’obukugu ssaako n’okukozesa abakozi abatalinamu yadde obumanyirivu.

Byagambi agamba kampuni 800 ku 1000 zajingirira ebiwandiiko byazo kale nga ziweebwa emirimu ezirina ebiwandiiko ebituufu nezirekebwa ebbali.

Kati okumalawo kampuni z’abafere, minisita ategezezza nga bwebagenda okuddamu okwekenenya kampuni zonna.

Kino kijidde mu kiseera nga eyali minsita w’ebyenguudo Abrahim Byandala kyajje akwatibwe n’agulwako emisango okuli okukozesa obubi ofiisi ye, obubbi okufiriza gavumenti emirimu n’emirala.

Wabula bino byonna okuvaayo kyaddirira kaliisoliiso wa gavumenti okufulumya alipoota ku mivuyo egyetobeka mu kugabira kampuni y’eggwanga lya Amerika eya Eutaw mungeri yamankweto okuzimba oluguudo lwa Mukono-Katosi.

Leave a comment

0.0/5