
Abakulembeze b’enono mu bitundu bya West Nile babakanye nekawefube w’okuwandiisa emberera zonna mu kitundu okwewala eby’okufumbiza abawala abatanetuuka.
Akulira eby’obuwangwa mu disitulikiti ye Nebbi Hannington Ovona, kino era kigendereddwamu kwagazisa baana ab’obuwala okusigala mu masomero.
Enteekateka eno ekulembeddwamu omukulu w’essza lye Kaal Ker Kwonga ono nga ye Ombidi II .
Ovona agamba era bakubulirira abavubuka ku kabi akali mu kwetaba mu bikolwa by’okwegatta nga bakyali bato.
Nga omuntu yenna tanawandisibwa, basooka kukukebera oba okyalina embuzi nga era abawala 63 n’abalenzi 37 emberera bebakawandikibwa.
Uganda ekwata kya 15 mu mawanga ga Africa agafumbiza abaana abato.