
Omuvubuka Ivan Kamyuka agambibwa okutta munne Johnnie Ahimbisibwe mu baala ya Guvna omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu.
Empapula ezongerayo Kamyuka zileteddwa omuwabi wa gavumenti Joyce Anyango n’aziwa omulamuzi w’eddaala erisooka Christine Nantege .
Obujulizi obwakaletebwa ku musango guno bulaga nga mukyala wa Kamyuka Nina Nyaraka n’omugenzi Johnnie bwebalina omwana .
Ku lunaku Johnie lweyafa kigambibwa nti balwanagana ne Nina nga Kamyuka agenzeko mu biyigo nga era bweyadda okutaasa mukyalwe n’akubagana n’omugenzi n’amutta.
Oludda oluwaabi era lutegezezza nga bwerugenda okuleeta obujulizi bw’ebitundu by’e giraasi eyakozesebwa Kamyuka okusalasala Johnie eyatusibwa ku ddwaliro lya Case Clinica nga afudde.
Olunaku lw’okuwulirirako omusango guno terunaba kutegezebwa.