Pulezidenti Museveni akunze abakyala ba NRM okusomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu obwavu
Bino puelzidenti abyogedde ayogerako eri abakyal a mu kibiina kya NRM abasisinkanye mu Lukiiko lwaabwe ku Imperial Royale Hotel
Olukiiko luno olumaze olunaku olumu lwategekeddwa amyuka akulira abakyala mu bugwanjuba Susan Muhwezi
Abakyala bano era batenderezza pulezidenti Museveni olw’obuterabira bakyala ng’abalonda ku bwaminista n’ebifo by’obuvunaanyizibwa Basonze ku Mary Karoro Okurut ne Lumumba Kasule abagonnomolwaako agafo gyebuvudde
Pulezidenti ayaniriziddwa akulira abakyala ba NRM Jacqueline Mbabazi.
Mu kusooka Mukyala Mbabazi yasoose kugaanibwa kwetaba mu Lukiiko era mu kavuvungano bannamawulire basatu bakwatiddwa kyokka nebayimbulwa ne mukyala Mbabazi n’akkirizibwa okuyingira