
Abantu bomu Gombolola ye Mpunge e Mukono bali mu kutya olwekibuzaawo bantu ekyeyongedde mu kitundu.
Abantu abawerako beyongera okubula nebikolobero ngokuzikula abafu.
Abatuuze okuva mu byalo 6 bazze okwetaba mu lukiiko lwebyokwerinda wabula mpaawo kitukiddwako.
Abatuuze bavudde mu mbeera olukiiko nerusasika nga bawakanya banabyabufuzi abangi abazze, ababadde batandise okubasaba obululu, okubajja ku mulamwa mu nnaku nokutya byebalimu.
Olukiiko lubadde lwetabiddwamu ssentebbe we gombolola ye Mpunge Muwanga Freda neba Councillor nga bonna bagobeddwa.
Kati abantu basabiddwa okubeera abegendereza, okukuuma abaana baabwe okwewala okutwalibwa.
Abaana tebakyakeera kuma ssomero nokudda amangu abamu kyebagamba nti kikosezza nebyensoma.
Waliwo okutebereza nti wandibaawo ebyokoola byebatanategeera ani yabireeta, abasezi obanga amakolero gabagwira bebasadaaka abantu olwa Business zaabwe.