Skip to content Skip to footer

Katunguluccumu talina katale e kayunga- bakugu

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwabula abalimi ekya National Agricultural Advisory Organisation , kirabudde abalimu mu disitulikiti ye Kayunga ku bantu  abatandise okubalimbalimba nti babasomesa okulima katunguluccumu ow’ettunzi.

Omukugu okuva mu kitongole kino e Kawanda Dr. Andrew Kiggundu agambye nti okunonyereza kwebakoze kulaga nti  katungulucumu ono tadda, ate nga talina n’akatale, kyokka ng’abantu babasaba emitwalo 2 okubasomesa okumulima.

Kiggundu agambye nti bakizudde nti abasomesa okulima katunguluccumu ono bafere abawedde emirimu kubanga nabo kamulali ono tebamulima.

Wano w’asinzidde n’asaba abakulira eby’obulimi mu disitulikiti ye Kayunga okusitukiramu okutaasa abalimi okubibwa.

Leave a comment

0.0/5