
Minisitule ekola ku byobulamu emalirizza okuddabiriza amawaliro musanvu.
Ekigendererwa ku kino kutereeza mpereeza naddala mu byobulamu
Amalwaliro agakoleddwaako kuliko erye Moroto Anaka , Nakaseke. Entebbe, Iganga, Kirandongo ne Mityana.
Enteekateeka etutte obukadde bwa doola 130 okuva mu banka y’ensi yonna.
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agambye nti eno yeemu ku nteekateeka yaabwe namutaayiika okutereeza amalwaliro gonna mu ggwanga.