Skip to content Skip to footer

KCCA etabukidde bamalaaya n’abatembeeyi

street vendors

Abawala abasangiddwa nga beerenze ku makubo bamalidde mu kkomera.

Prossy Sentongo ne Edith Nanteza bavunaaniddwa  mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa

Ba maama bano ababiri tebegaanye gwakulenga kaboozi

Basaliddwa ekibonerezo kya wiiki 2 nga bali mu kkomera

Bano nno kigambibwa  nti nga 6th omwezi guno basangibwa nga beerenze kyokka ate nebatakoma awo nebatandika okukuba poliisi amayinja

Mu ngeri yeemu

Abatembeeyi abasoba nmu 40 beebavunaniddwa mu kooti ogw’okukolera mu kibuga nga tebalina permit

Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka, Sarah Langa era tebegaanye misango.

Omulamuzi abasalidde ekibonerezo kyakuliwa emitwalo 3 oba okusibwa omwezi gumu ssinga zibalema

Abalala bbo balagiddwa kukola bulungi bw ansi

 

Leave a comment

0.0/5