Kkooti ejulirwamu egobye okusaba kwa naggaga Kato Kajubi abadde yemulugunya ku kibonerezo ky’okusibwa amayisa oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye.
Kkooti enkulu e Masaka yasingisa Kajubi omusango guno nakaligibwa obulamu bwe bwonna mu kkomera , Kajubi kyaatamatira era najulira.
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu bategezezza nga omulamuzi wa kkooti ye Masaka Michael Chibita omusango bweyagusala obulungi nga amaze okwekenenya bulungi obujulizi.
