Skip to content Skip to footer

Lukwago akubagizza aba Paakayaadi

LUkwago wina

Omuloodi wa kampala ssalongo Eria Lukwago olwaleero alambuddeko abasuubuzi b’omu park yard.

Ono nga ayogerako eri abasuubuzi bano,agambye emiriro egikwata akatale kano , kiviira dala kubula lyakakiiko akategekera ekibuga mukitongole ekya kcca.

Lukwago era yebaziza gavumenti olwokuwayo akawumbi eri abasuubuzi abafiriddwa ebyabwe wabula nasaba eyongere ku nsimbi zino zituuke ku buwumbi 4.

Wabula oyye Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bano  abakolera mukatale kano John Bosco Sserwadda, agamba ensimbi zino akawumbi akagenda okubaweebwa govt zakukozesebwa kugula bikozesebwa mu kuzimba akatale akenkalakalira akagumu.

Ono atugambye nti abakulembeze ba katale  ne gavumenti bakyateesa ku nsonga eno okumanya ddi ensimbi zino lwezigenda okubaweebwa.

 

Leave a comment

0.0/5