Daaki eyali akulira ebitongole ebikessi mu gwanga Gen. David Sejusa ayimbuddwa kati alya butaala.
Kkooti enkulu eyimbudde Ssejusa ku bukadde bwakuno 10 ezitabadde zabuliwo.
Abamweyimiridde kubaddeko loodi meeya Erias Lukwagone Dr. Deo Lukyamuzi ku bukadde 50 ezitali zabuliwo.
Omulamuzi Masalu Musene alagidde Ssejusa okweyanjulanga mu kooti buli luvanyuma lwa ssabiiti bbiri.
Kinajjukirwa Sejusa yaddukira mu kooti enkulu ngayagala yeyimirirwe oluvanyuma lwa kooti yamagye okumggalira munda ebbanaga eriwezeeko nga takiriza kweyimirirwa.
Eno omulamuzi Margaret Aumo Oguli yayimiriza kooti yamagye etuula e Makindye okutuusa ngomusango gwe mu kooti yabulijjo mweyebuliza obanaga akyali mujaasi wa UPDF nga gulamuddwa.
Kati mu lutuula lwa kooti olwaleero Ssejusa yeyimiriddwa waddenga Ssabawaabi wa gavumenti nomuwaabi wa kooti yamagye nga babadde tebakikiriddwa.