Skip to content Skip to footer

Agambibwa okubeera omuyekera bamukutte

Enanga freshPoliisi  etegezezza nga bweliko ateberezebwa okubeera omuyeekera gwekutte, ono yoomu kubabade kubabade abategese okutandika okuteganya etundutundu lino eriri wansi w’amayanja.

Akwatiddwa ye  Frank Anon nga kigambibwa nti ono yakulira ekibinja ekya aba-congo ekya FDIR , era nga ono okukwatibwa abade agezeeko okusaba obubudamu mu nkambi y’ababundabunda ku Old Kampala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba Anon ono yayingidde Uganda n’ekigendererwa eky’okuwandiisa abanonyi b’obubudamu abacongo mu bikolwa by’ekiyeekera.

Omukwate ono kati akuumibwa ku kitebe kya poliisi mu Kampala ekya CPS.

Leave a comment

0.0/5