Skip to content Skip to footer

Lukwago aluyiseeko- Olutalo lutandika butandisi

LUkwago wina

Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago aweze nti olutalo olw’okulwanirira entebe ye ey’obwa loodi Meeya lutandika butandisi.

Kino kiddiridde kooti enkulu  okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okussa mu nkola ebyasalibwaawo akakiiko akaali kanonyereza ku loodimeeya.

Omulamuzi Yasin Nyanzi era alagidde gavumenti esasule Lukwago ssente ze zonna z’asasanyizza mu kuwaaba omusango guno .

Omulamuzi era ategeezezza nti okuva bwekiri nti Lukwago Mukozi wa KCCA okuteeka mu nkola ebiri mu alipoota eno nga omusango gwe gukyagenda maaso kisoboloa okumukosa.

Ono era ategezezza nga Lukwago bweyalondebwa abantu abakulu abamwesiga n’obululu bwaabwe.

Kino kisaanudde abawagizi ba Lukwago ne batandika okujaganaya olwensalawo eno.

Kino kitegeeza nti kati Minister Frank Tumwebaze tasobola kuteeka mu nkola nsonga yonna yasaliddwawo mu alipoota eno era buli kimu kyakusigala nga bwekiri ku KCCA nga Lukwago ye loodimeeya

Leave a comment

0.0/5