Omubaka wa Budadiri Nandala Mafaabi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kya FDC.
Mafaabi agamba agamba ayagala kwongera mbavu mu kibiina kino naddala mu bukulembeze bw’ekibiina.
Mafaabi okwesowolayo kiddiridde ekisanja kya Alice Alaso nga ssabawandiisi w’ekibiina okuggwako oluvanyuma lw’okuwereza ebisanja 2.
Mu ttabamiruka w’ekibiina awedde,Mafaabi y’amegebwa Mugisha Muntu ku bwa ssenkaggale bw’ekibiina.